Ekiwandiiko kino ekyagabanyizibwa ku X (eyali Twitter) nga kiriko ekifaananyi ekigamba nti kiraga akabenje ku Lugogo Bypass mu Uganda BULIMBA.
Ekifaananyi kiraga mmotoka bbiri ezigambibwa nti zeenyigidde mu kabenje.

Wabula okunoonyereza nga tukozesa tekinologiya ya Google Lens reverse image search kyazudde nti ekifaananyi kino kibadde ku mutimbagano okuva mu April 2023 era nga tekikwatibwa mu Uganda. Ekifaananyi kyasoose kugabana mu Kenya, nga bwekirabibwa wano ne wano.
Kyafuluzibwa mu mwezi gwa kuna nga 2023, akabenje kano kaagwa ku luguudo lwa James Gichuru ne katta obulamu bw’omuvuzi wa ddigi.

Factjaja yakozesezza Google Street View okunoonya Lugogo Bypass mu Kampala ne bakizuula nti oluguudo oluli mu kifaananyi ekigambibwa nti lwawukana ku bypass yennyini. Oluguudo lwa Lugogo Bypass lwa mirongooti nnya, ate oluguudo olulagiddwa mu kikondo lwa mirongooti ebiri.

Factjaja etunuulidde ekiwandiiko ekyagabanyizibwa ku X n’ekifaananyi ekigamba nti kiraga akabenje akaagudde ku luguudo lwa Lugogo Bypass mu Uganda n’esanga nga BULIMBA.