@UNICEFUganda etangaaza nti terina kakwate na nteekateeka/emivuyo egyenjawulo egigenda mu maaso. Tukuwa amagezi obutakwatagana singa ofuna obubaka buno.
Okuva ku ntandikwa y’omwaka 2024, ebiwandiiko n’ebifaananyi biyitiridde ku mikutu gya yintaneeti , nga bigamba nti UNICEF ekola enteekateeka y’ebyensimbi ng’ewaayo ssente, nga kino kyetaagisa ssente z’okwewandiisa.
Omukutu ogumu bwogugoberera, Gukugussa kukibanja kya Whatsapp era enamba okuzesebwa kuno eraga evira ddala musazza lya Amerika e Westchester New York ela gukuwa obubaka obw’okwaniriza nga bugamba:
Mwebale Kutuukirira kkampuni ya UNICEF PROMOTION GROUP LTD!!! ku bikwata ku mpeereza yaffe gye tuwa, Tuyinza okukubuuza ebibuuzo bitono, .
Bwokiriza, Bakubuza ebibuuzo bitono nga Amannya, Ennamba y’essimu n’Ensi gy’osibuka n’ogobererwa olukalala lw’Ensimbi z’olina okwetaaga nga nazo zigattibwa ku ssente z’okwewandiisa nga bwobilaba mubifannanyi.

UNICEF nga eyita kumukutu gwayo ogwa X Eyali emanyiddwa nga Twitter yeeyawula ku mivuyo egigenda mu maaso era…elabula abantu nga egamba bwetyo.
Sigala nga oli bulindaala era weekuume ku mivuyo gino!@UNICEFUganda etangaaza nti terina kakwate na nteekateeka/emivuyo egyenjawulo egigenda mu maaso. Tukuwa amagezi obutakwatagana singa ofuna obubaka buno.

Factjaja yatuukiridde Edmond Mwebembezi, MPH, akulira ebyempuliziganya mu kitongole kya UNICEF , nasambaza entekateka eyo era najiyita eyobufere.
Nga tunoonyereza mu nkola entegeke , okukakasa okuyita mu nsonda entongole, okwekenneenya ebikwata ku by’ekikugu, n’okumanyisa obulungi ebizuuliddwa, enteekateeka ya UNICEF egambibwa nti egaba sente eri bana Uganda, Yabufere.