Ebigambibwa mikutu gya yintaneeti nti gavumenti ya Bungereza eyimirizza ennyonyi za Uganda Airlines okuva e Entebbe okudda e Gatwick bya bulimba.

Gye buvuddeko kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines yalangirira okutandika ennyonyi egenda butereevu wakati wa Entebbe ne London Gatwick, okutandika nga May 18, 2025, nga ekola emirundi ena mu wiiki n’ennyonyi yaayo eya Airbus A330-800neo.
Ekiwandiiko ekifulumye mu ngeri ey’obulimba kigamba nti minisita wa Bungereza ow’ensonga z’ebweru David Lammy nga alagira ennyonyi eno okuyimiriza olw’okutwoboola eddembe ly’obuntu. Wabula kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines egobye ebyogerwako, n’ekakasa nti olukusa lwayo olwa Foreign Carriers Permit lukyakola era nga n’enteekateeka z’okutongoza zigenda mumasso
Tewabaddewo kiwandiiko kitongole okuva mu gavumenti ya Bungereza, ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi ekya Civil Aviation Authority, oba ofiisi y’ensonga z’ebweru, Commonwealth & Development Office (FCDO) ku kuyimiriza kwonna.
Omukungu wa Bungereza mu Uganda, Lisa Chesney yeetabye ku mukolo gw’okulangirira olugendo, n’alaga obuwagizi bwa Bungereza eri ennyonyi empya n’emigaso gyayo mu by’enfuna n’ebyobuwangwa.

Okwogerwako okw’obulimba era kugezaako okukwataganya ebigambibwa nti Kizza Besigye yasibibwa n’okulonda kw’e Kawempe North okwakaggwa.
Okukakasa Factjaja mu bujjuvu ng’akozesa ensonda ezesigika kukakasa nti ebyogerwa ku David Lammy okuyimiriza ennyonyi za Uganda Airlines okugenda e London bya bulimba ddala.
Factjaja yakoze enkola y’okukebera amazima ng’ekozesa ensonda ezikakasibwa, era n’akakasa nti ebigambibwa bya bulimba.